1 Chronicles 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa enkambi z'abatabaazi wonna mu Edomu, Abeedomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba ebigo mu Edomu, aba Edomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateeka enkambi z'abaserikale mu Edomu. Abeedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateeka ebigo mu Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi okuwangula buli gye yagendanga yonna.