1 Chronicles 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yalwanyisa ne Adadeezeri kabaka w'e Zoba, okutuuka e Kamati, lwe yali agenze okuzza mu mikono gye ensi y'oku mugga Furaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba n'amuwangulira okumpi ne Kamasi bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'awangula ne Hadadezeri Kabaka w'e Zoba, ekiri okumpi ne Hamati, Hadadezeri oyo bwe yali ng'agenda okunyweza obufuzi bwe mu kitundu ekiriraanye Omugga Ewufuraate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba okutuusa e Kamasi, bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati.