1 Chronicles 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yassa enkambi z'abatabaazi mu Aramu ekya Damasiko; Abaaramu ne bafuuka baweereza be, ne bawa n'omusolo. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ensi yaabwe n'agiteekamu enkambi z'abaserikale, Abasiriya ne bafuuka abaddu be, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.