1 Chronicles 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Dawudi kabaka n'aggya ekikomo kingi nnyo mu Tibukati ne mu Kuni, ebibuga bya Adadeezeri, Solomoni kye yeeyamba okukola Ennyanja ey'ekikomo, empagi n'ebikozesebwa ebirala eby'ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu bibuga Tibuhati ne Kuuni ebyafugibwanga Hadadezeri, Dawudi n'aggyamu ekikomo kingi nnyo. Ekikomo ekyo, Solomooni kye yakozesa ogutanka, n'empagi, n'ebintu ebirala eby'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo.