1 Chronicles 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu bwe yalaba nga beetegese okumulwanyisa nga bafuluma mu maaso n'emabega, n'alonda mu bonna abatabaazi abalondobe mu Yisirayeli, n'abategeka okulumba Abaaramu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Isiraeri abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu bwe yalaba ng'olutalo balusimbye mu maaso ge n'ennyuma we, n'alonda ku basajja bonna aba Isiraeri abalonde, n'abasimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli.