1 Chronicles 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekitundu ky'abantu ekyasigalawo n'akiwa Abisayi muganda we n'abategeka okulumba Abammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abantu abalala bonna n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beeteekateeka okulwanyisa abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalala bonna abaasigalawo n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beetegeka okwolekera Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu abalala bonna n'abateresa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, ne basimba ennyiriri okulwana n'abaana ba Amoni.