1 Chronicles 19:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba nti: “Abaaramu bwe banansinza amaanyi, ononziruukirira; n'Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, nnaakudduukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti Abasuuli bwe banansinga amaanyi, onojja n'onnyamba naye abaana ba Amoni bwe banaakusinga amaanyi, kale nze najja nnenkuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi, onojja n'onnyamba. Naye Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Abasuuli bwe banannyinga amaanyi, kale ggwe ononnyamba: naye abaana ba Amooni bwe banaakuyinga amaanyi, kale nze naakuyamba.