1 Chronicles 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beera muzira; tulwane na buzira okutaasa abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe; Omukama anaakola ekisaanye mu maaso ge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Guma omwoyo tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Guma omwoyo, twerage obusajja olw'abantu baffe, n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole ekyo ky'anaasiima.