1 Chronicles 19:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yowabu n'eggye lye yali nalyo ne balumba okulwanyisa Abaaramu, Abaaramu ne babadduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'abalwanyi be yali nabo ne basembera okulwanyisa Abasuuli, Abasuuli ne badduka okuva mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abasiriya, Abasiriya ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'abantu abali naye ne basembera mu maaso g'Abasuuli okulwana; ne badduka mu maaso ge.