1 Chronicles 19:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaaramu bwe baalaba nga bakubiddwa Yisirayeli, ne baweereza ababaka ne bakuŋŋaanya Abaaramu okuva emitala w'Omugga, Sofaki omuduumizi w'eggye lya Adadeezeri ng'abakulembedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa aba Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasiriya bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasiriya abaali emitala w'Omugga Ewufuraate, ne Sofaki Omuduumizi w'eggye lya Hadadezeri nga ye mugabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe.