1 Chronicles 19:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baakibuulira Dawudi, n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna, n'asomoka Yorudani, n'ajja gye bali, n'abatambaala. Dawudi n'ataza eggye okusisinkana Abaaramu, nabo ne bamulwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe baamubuulira n'akuŋŋaanya eggye lya Yisirayeli lyonna, n'asomoka Omugga Yorudaani, n'abatuukako, ne yeetegeka okubalwanyisa. Awo Dawudi bwe yamala okwetegeka okulwanyisa Abasiriya, Abasiriya abo ne bamulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye.