1 Chronicles 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abaaramu ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Baaramu abatabaazi b'oku bigaali lusanvu, n'abatabaazi baabwe ab'ebigere emitwalo ena. N'atta ne Sofaki omuduumizi w'eggye lyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasuuli ne bawangulwa aba Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja abavuzi b'amagaali kasanvu (7,000), n'abatambuza ebigere emitwalo ena (40,000), n'atta Sofaki omukulu w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasiriya, ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Basiriya abasajja kasanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena ab'ebigere n'atta ne Sofaki omuduumizi w'eggye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali kasanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi buna, n'atta Sofaki omukulu w'eggye.