1 Chronicles 19:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “Nzija kugirira ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi kubanga kitaawe yangirira ekisa.” Awo Dawudi n'atumayo abaweereza be bamutuusize okukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Naye abaweereza ba Dawudi bwe bajja ewa Kanuni mu nsi y'Abammoni okumukubagiza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa. Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba nti Nnakolera eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yankolera eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Kanuni okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba nti: “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa, nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'atuma ababaka okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka ewa Hanuni mu nsi y'Abammoni okumukubagiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Naalaga eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yandaga eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka okumukubagiza olwa kitaawe: Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza.