1 Chronicles 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abakungu b'Abammoni ne bagamba Kanuni nti: “Olowooza Dawudi akutumidde ab'okukukubagiza lwa kussaamu kitaawo kitiibwa, nandiki Dawudi abaweereza abasindise gy'oli bekkaanye era bazikirize n'ensi bagikette?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, n'okutuma n'akutumira okukubagiza? Abaddu be tebazze kwetegereza n'okuketta ensi balyoke bagiwambe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abakulembeze b'Abammoni ne bagamba Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira ab'okukukubagiza, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Abaweereza be bazze kwetegereza n'okuketta ensi, asobole okugiwamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu ekitiibwa kitaawo, n'okutuma n'akutumira abakubagiza? abaddu be tebazze okunoonya n'okumenya n'okuketta ensi?