1 Chronicles 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kanuni n'addira abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekirevu, n'engoye zaabwe n'azisalako ebitundu okukoma mu makkati ku butuuliro, n'abagoba bagende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kanuni n'akwata abaddu ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku butuuliro bwabwe, n'abasiibula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu butuuriro bwabwe, n'abasiibula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kanuni n'addira abaddu ba Dawudi n'abamwa, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika.