1 Chronicles 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bagenda ewa Dawudi, ne bamubuulira ebigudde ku baweereza be; Dawudi n'asindika ababaka ab'okubasisinkana; baali batoowaziddwa nnyo. Dawudi n'abalagira nti: “Musigale mu Yeriko, okutuusa ebirevu byammwe nga bimeze, awo mulyoke mukomewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja abo. N'atumya okubasisinkana kubanga bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'abagamba nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula ne mulyoka mukomawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abamu ne babuulira Dawudi ebikoleddwa ku basajja abo. N'atuma abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Mugira musigala e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja. N'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja nga bakwatiddwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.