1 Chronicles 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abammoni bwe baalaba nga beekyayisizza ewa Dawudi, Kanuni n'Abammoni ne baweereza talenta lukumi eza ffeeza okupangisa ebigaali n'abeebagazi okuva e Aramu Nakarayimu, Aramu-Maaka n'e Zoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga banyiziiza Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi (1,000) okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Hanuni n'Abammoni bwe baalaba nga beekyayisizza Dawudi, ne basasula talanta lukumi eza ffeeza, okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotaamiya ne mu Maaka ekya Siriya, ne mu Zoba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga bamutamye Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi okugulirira amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba.