1 Chronicles 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bapangisa ebigaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri, wamu ne kabaka w'e Maaka n'eggye lye lyonna. N'ajja n'asiisira kumpi ne Medeba. Abammoni bo ne bakunga abatabaazi okuva wonna mu bibuga byabwe, ne bajja mu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000), ne kabaka w'e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri, ne kabaka w'e Maaka n'abantu be. Abo ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abammoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe, ne beetegeka okulwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagulirira amagaali obukumi busatu mu enkumi bbiri ne kabaka w’e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana.