1 Chronicles 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abammoni ne bavaayo, ne bataza eggye mu maaso ga wankaaki w'ekibuga kyabwe. Bo bakabaka abajja okulwana ne basigala ku ttale bokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abammoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Amoni ne batabaala, ne basimbira ennyiriri awali wankaaki w'ekibuga ne bakabaka abaali bazze baali bokka ku ttale: