1 Chronicles 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannyinaabwe baali: Zeruya ne Abigayili. Batabani ba Zeruya: Abisayi, Yowabu ne Asaweli; baali basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannyinaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya bali basatu be bano: Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bannyinaabwe: Zeruyiya ne Abigayili. Zeruyiya yazaala abalenzi basatu: Abisaayi, Yowaabu, ne Asaheeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bannyinnaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Ne batabani ba Zeruyiya; Abisaayi, ne Yowaabu, ne Asakeri, basatu.