1 Chronicles 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kalebu mutabani wa Kezuroni mukazi we yamuzaalira abaana Azuba ko ne Yeriyoti. Batabani be be: Yeseri, Sobabu ne Arudoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi. Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kalebu mutabani wa Kezulooni yalina abakazi babiri, omu nga ye Azuba n'omulala nga ye Yeriyoosi: ne bazaala abaana bano: Yeseri, Sobabu ne Aludoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kalebu mutabani wa Hezirooni yazaala omuwala Yeriyooti, mu mukazi we Azuba. Era bano be balenzi Azuba be yazaala: Yeeseri, Sobabu, ne Arudooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kalebu mutabani wa Kezulooni n'azaala abaana mu Azuba mukazi we, ne mu Yeriyoosi: ne bano be baali batabani be; Yeseri ne Sobabu, ne Aludoni.