1 Chronicles 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Segubi yazaala Yayiri, eyafuganga ebibuga abiri mu bisatu mu nsi y'e Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Segubu n'azaala Yayiri, Yayiri yali nnannyini bibuga abiri mu bisatu (23) mu nsi ya Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Segubu n'azaala Yayiiri eyali nnannyini bibuga amakumi abiri mu bisatu mu kitundu ky'e Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Segubu n'azaala Yayiri, eyalina ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ya Gireyaadi.