1 Chronicles 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Gessuru ne Aramu baawamba ebibuga bya Yayiri, Kenati n'obubuga bwakyo; bye bibuga nkaaga. Abo be baali ezzadde lya Makiri kitaawe wa Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwakabaka bw'e Gesuli ne Alamu ne bunyagako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo ebikyetoolodde, byonna awamu ebibuga nkaaga (60). Abo bonna abaali eyo be basibuka mu Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwakabaka bw'e Gesuri ne Araamu ne bubanyagako Ebibuga bya Yayiiri, ne Kenaati, n'ebyalo ebikyetoolodde, byonna awamu ebibuga nkaaga. Abo bonna abaali eyo be basibuka mu Makiri, kitaawe wa Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gesuli ne Alamu ne babaggyako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo byako, ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali batabani ba Makiri kitaawe wa Gireyaadi.