1 Chronicles 2:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezuroni ng'amaze okufa Kalebu yawasa Efurata, eyali muka kitaawe Kezuroni, n'amuzaalira Asukuru kitaawe wa Tekowa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kezulooni ng'amaze okufiira mu Kalebu-efulaasa, Abiya nnamwandu we n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hezirooni ng'amaze okufiira mu Kalebu-Efuraati, nnamwandu we Abiya n'amuzaalira Asuhuuri kitaawe wa Tekowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kezulooni ng'amaze okufa mu Kalebu-efulaasa, Abiya muka Kezulooni n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa.