1 Chronicles 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Yuda: Eri, Onani ne Sela. Bano abasatu baamuzaalirwa Bati-Suwa, omukazi Omukanaani. Naye Eri, omuggulanda wa Yuda yali mwonoonyi mu maaso g'Omukama, Omukama n'amutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Yuda baali Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani. Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Yuda be bano: Eri, Onani ne Seera: abo bonsatule nnyaabwe yali Basusuwa Omukanani. Naye Eri omubereberye wa Yuda yali muntu mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Yuda: Eri, ne Onani ne Seela. Abasatu abo nnyaabwe yali Suuwa Omukanaani. Omuggulanda we Eri, yali muntu mubi. Mukama n'amutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera: abo bonsatule baamuzaalirwa mu Basusuwa Omukanani. Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; n'amutta,