1 Chronicles 2:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Kalebu muganda wa Yerakumeeli: Mesa omuggulanda we, ye yazaala Zifu, ne mutabani we Maresa eyazaala Keburoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri, ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu. Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri be bano: Mesa omubereberye we, eyazaala Zifu, Zifu n'azaala Malesa, Malesa n'azaala Kebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeli be bano: Meesa omuggulanda we, eyazaala Ziifu, Ziifu n'azaala Maresa, Maresa n'azaala Heburooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri ye Mesa omubereberye we, ye yali kitaawe wa Zifu; ne batabani ba Malesa kitaawe wa Kebbulooni: