1 Chronicles 2:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazaala ne Saafi kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena, ne Gibewa, ne muwala wa Kalebu Akusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna. Seva n’azaala Makubena ne Gibea. Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena ne Gibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yazaala ne Saafu kitaawe wa Madimenna, n'azaala ne Seva kitaawe wa Makubeena era kitaawe wa Gibeya. Muwala wa Kalebu yali Akusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena, era kitaawe wa Uibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa.