1 Chronicles 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutabani wa Karumi: Akari, eyaleetera Yisirayeli omutawaana ng'amenya ekiragiro ku bintu ebyali bisaliddwa okuzikirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutabani wa Kalumi ye yali Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutabani wa Kalumi yali Akali, eyaleetera Abaisiraeri omutawaana bwe yasobya ebintu ebyali biwongeddwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutabani wa Karumi yali Akaari, eyaleetera Abayisirayeli omutawaana bwe yasobya ebintu ebyali biwongeddwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Kalumi; Akali, omuteganya wa Isiraeri, eyayonoona mu ekyo ekyawongebwa.