1 Chronicles 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ntandikwa y'omwaka, obudde bakabaka mwe batera okugendera mu ntalo, Yowabu yatwala eggye, n'afufuggaza ensi y'Abammoni, n'ajja n'azinda Rabba. Naye Dawudi yasigala mu Yeruzaalemu. Yowabu ekibuga n'akikuba n'akifuula matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, mu kiseera ky'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'akulembera eggye ery'amaanyi, n'azinda ensi y'abaana ba Amoni, n'azingiza ekibuga Labba. Kyokka kabaka Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akizikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, mu kiseera ky'omwaka bakabaka mwe bagendera okulwana entalo, Yowaabu n'akulembera eggye ery'amaanyi, n'azinda ensi y'Abammoni. Kyokka kabaka Dawudi n'asigala e Yerusaalemu. Yowaabu n'azingiza Ekibuga Rabba, n'akirumba n'akizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'atabaaza amaanyi ag'eggye, n'azisa ensi y'abaana ba Amoni, n'ajja n'azingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akisuula.