1 Chronicles 20:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'aggya ku mutwe gwa kabaka waabwe engule. Yazuula nti engule yali ezitowa talenta eya zaabu nnamba, ng'etoneddwako amayinja ag'omuwendo. Ne bagissa ku mutwe gwa Dawudi. Era Dawudi n'anyagulula ekibuga, n'atwala omunyago munene nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: ne banyaga omunyago mungi nnyo mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'aggya engule ku mutwe gw'ekifaananyi kya Lubaale Moleki ow'Abammoni. Engule eyo yali ya zaabu, ng'ezitowa kilo ng'amakumi asatu mu nnya era ng'erimu amayinja ag'omuwendo ennyo. Dawudi n'agaggyamu n'agateeka mu ngule eyiye. Dawudi n'anyaga n'ebintu ebirala bingi mu kibuga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, n'alaba obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: n'aggyamu omunyago ogw'omu kibuga mungi nnyo.