1 Chronicles 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abaalimu yabaggyamu n'abasalira ogw'okukola n'emisumeeni, n'ensuuluulu ez'ebyuma n'embazzi. Bw'atyo bwe yakola ne ku bibuga byonna eby'Abammoni. Olwo Dawudi n'akomawo mu Yeruzaalemu n'eggye lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaali omwo n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa: emisumeeno, ensuuluulu, n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola abantu mu bibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abammoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyamu abantu abaali omwo; n'abasala n'emisumeeno n'amannyo ag'ebyuma n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.