1 Chronicles 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lwa bino, waabalukawo olutalo n'Abafilisitiini e Gezeri. Ku olwo Sibbekayi Omukusa n'atta Sippayi ow'omu lulyo lw'Abarefa. Abafilisitiini ne bafufuggazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri wakati w'Abaisiraeri n'Abafirisuuti: Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu liri eriwagguufu: Abafirisuuti ne bawangulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo olutalo e Gezeri wakati w'Abayisirayeli n'Abafilistiya. Sibbekaayi ow'e Huusa n'atta Sippayi, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu. Abafilistiya ne bawangulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri n'Abafirisuuti: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu: ne bawangulwa.