1 Chronicles 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era waaliwo olutalo mu Gati, omwali omusajja omuwagguufu, eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu n'obugere mukaaga ku buli kigere; byonna wamu amakumi abiri mu bina. N'oyo naye yali asibuka mu Rafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, nga engalo ze n'obugere bwe bwali abiri mu buna (24), buli mukono kwaliko engalo mukaaga (6), na buli kigere kwaliko obugere mukaaga (6) era naye yazaalirwa erintu eryo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne wabaawo olutalo olulala e Gaati, nga lulimu omusajja omuwagguufu eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu, n'obugere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu amakumi abiri mu bina, engalo n'obugere. Omusajja oyo naye yali muzzukulu wa musajja oli omuwagguufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, engalo ze n'obugere bwe amakumi abiri mu buna, buli mukono mukaaga, na buli kigere mukaaga; era naye yazaalirwa erintu eryo.