1 Chronicles 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abo baali basibuka mu Rafa mu Gati. Baafiira mu mikono gya Dawudi n'egy'abasajja be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna abaazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo baali bazzukulu ba musajja omuwagguufu ow'e Gaati, era battibwa Dawudi ne basajja be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo baazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi, n'omukono gw'abaddu be.