1 Chronicles 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjala egwe okumala emyaka esatu? Oba emyezi esatu egy'okusaanyizibwawo mu maaso g'abalabe bo, n'ekitala ky'abalabe bo nga kikukinyeeko? Oba ennaku ssatu ez'ekitala ky'Omukama, ze nnaku eza kawumpuli mu nsi nga malayika agenda avunjaga buli kitundu kyonna ekya Yisirayeli? Kale weerowooze, olondeko kye nnaddiza oli antumye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu (3) ng'oyigganyizibwa abalabe bo, oba ennaku ssatu (3) nga Mukama akulumba n'ekitala kye, asindike kawumpuli mu nsi yo, ne malayika wa Mukama agende ng'azikiriza abantu mu nsalo zonna eza Isiraeri.’ Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba emyaka esatu egy'enjala, oba emyezi esatu ng'oyigganyizibwa abalabe bo mu ntalo, oba ennaku ssatu nga Mukama akulumba n'ekitala kye, asindike kawumpuli mu nsi yo, malayika wa Mukama agende ng'atta abantu mu Yisirayeli yonna. Lowooza olabe kye nnaddiza oyo antumye.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu okumalirwawo mu maaso g'abalabe bo, ekitala ky'abalabe bo nga kikutuukako; oba ekitala kya Mukama ennaku ssatu, kawumpuli ng'ali mu nsi; ne malayika wa Mukama ng'azikiriza mu nsalo zonna eza Isiraeri. Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye.