1 Chronicles 21:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Ndiko ennaku nnyingi; naye ekisinga obulungi ka ngwe mu mikono gy'Omukama, kasita ekisa kye kingi nnyo, naye tondeka kugwa mu mikono gya bantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri ngwe nno mu mukono gwa Mukama mbonerezebwe, kubanga okusaasira kwe kungi nnyo; nneme okugwa mu mukono gw'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Nsobeddwa nnyo. Wabula ka mbonerezebwe Mukama, kubanga ye alina okusaasira kungi, naye nneme kubonerezebwa bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: ngwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi nnyo: nneme okugwa mu mukono gw'abantu.