1 Chronicles 21:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'atuma malayika we azikirize Yeruzaalemu, naye malayika aba atandika okukizikiriza, Omukama n'alaba ne yeddamu ku kabi ako, n'agamba malayika eyali atta abantu nti: “Kimala! Kaakati ssa omukono gwo.” Malayika w'Omukama yali ayimiridde kumpi n'egguuliro lya Orunani Omuyebusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza; awo bwe yali ng'anaatera okukizikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi ako, n'agamba malayika azikiriza nti, “Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo oguzikiriza.” Malayika wa Mukama yali ayimiridde awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemu okukizikiriza. Bwe yali ng'anateera okukizikiriza, Mukama n'akitunuulira, ne yeddamu olw'akabi ako, n'agamba malayika azikiriza nti: “Kinaamala, kaakano lekera awo okubonereza.” Malayika yali ayimiridde awali egguuliro lya Orunaani Omuyebusi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza: awo ng'anaatera okuzikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi, n'agamba malayika azikiriza nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Malayika wa Mukama n'ayimirira awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi.