1 Chronicles 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yayimusa amaaso, n'alaba malayika ng'ayimiridde wakati w'eggulu n'ensi, ng'alina mu ngalo ekitala ekisowole nga kigololeddwa ku Yeruzaalemu. Awo Dawudi n'abakadde ne bambala ebikutiya, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayimusa amaaso ge n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte ekitala ekisowoddwa mu ngalo ze, ekigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n'abakadde, nga bambadde ebibukutu, ne balyoka bavuunama amaaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe yayimusa amaaso n'alaba malayika wa Mukama, ng'ayimiridde mu bbanga, wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte mu ngalo ze ekitala ekisowoddwa, ng'akigolodde ku Yerusaalemu. Dawudi n'abakulembeze b'abantu, ne bavuunama amaaso gaabwe okutuuka ku ttaka nga bambadde ebikutiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)