1 Chronicles 21:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Omukama nti: “Si nze nalagira okubala abantu? Nze nakola ekibi, nze nayonoona; bano endiga obuliga baakola ki? Nkwegayiridde, Mukama Katonda wange, omukono gwo gukyukire nze n'ennyumba ya kitange, naye toleka kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Katonda nti, “Si nze nnalagira okubala abantu? Nze nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo bingi; naye endiga zino bakoze ki bo? Nkwegayiridde, ayi Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye guleme okuba ku bantu bo obawonye kawumpuli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Katonda nti: “Nze nalagira okubala abantu. Nze nnyonoonye ne nkola ekibi ekinene ennyo, naye abantu bano bakoze ki? Nkwegayiridde ayi Mukama Katonda wange, bonereza nze, n'ab'ennyumba ya kitange, owonye abantu bo kawumpuli!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Katonda nti Si nze nalagira okubala abantu? Nze nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo kingi; naye endiga zino bakoze ki bo? nkwegayiridde, ai Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye guleme okuba ku bantu bo babe ne kawumpuli.