1 Chronicles 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'agamba Gaadi alagire Dawudi azimbire Omukama omwaliiro mu gguuliro lya Orunani Omuyebusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, agende, azimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, agende azimbire Mukama alutaari, mu gguuliro lya Orunaani Omuyebusi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, Dawudi ayambuke, azimbire ekyoto eri Mukama mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.