1 Chronicles 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Yowabu n'abagabe b'eggye bonna nti: “Mugende mubale Abayisirayeli okuva e Beeriseba okutuuka ku Daani, mukomeewo mmanye omuwendo gwabwe bwe gwenkana”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu abalala mu ggye nti, “Mugende mubale abantu ba Isiraeri bonna okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; mukomewo muntegeeze omuwendo gwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulembeze b'abantu nti: “Mugende mu Yisirayeli, okuva e Beruseba okutuuka e Daani, mubale abantu, mukomewo muntegeeze we benkana obungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu b'abantu nti Mugende mubale Isiraeri okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; munzirize ebigambo ntegeere omuwendo gwabwe.