1 Chronicles 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Orunani yali awewa ŋŋano, bwe yakyuka, n'alaba malayika, batabani be abana abaali naye ne beekweka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Orunaani yali mu gguuliro ne batabani be abana ng'awuula eŋŋaano. Bwe yakyuka n'alaba malayika, abatabani ne beekweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano.