1 Chronicles 21:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amugamba nti: “Mpa ekifo ky'egguuliro lyo nzimbirewo Omukama omwaliiro kawumpuli agudde mu bantu akome. Nzija kukusasula omuwendo gwonna oguligyamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti, “Nguza ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbirewo Mukama ekyoto, nja kukisasula omuwendo gwennyini ogukigyamu; kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'amugamba nti: “Nguza ekibanja ky'egguuliro lino, nkisasule omuwendo gwennyini ogukigyamu, nzimbirewo Mukama alutaari, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti Mpa ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbewo ekyoto eri Mukama; onoogulana nange n'ebintu ng'omuwendo gwalyo gwennyini bwe guli obutaseera: kawumpuli aziyizibwe mu bantu.