1 Chronicles 21:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Orunani n'agamba Dawudi nti: “Litwale; mukama wange kabaka, okole nga bw'onooba osiimye. Laba nzija kukuwa ente y'ekitambiro ekyokye, ebiggo ebiwuula olw'enku, n'eŋŋano olw'ekitone eky'obuwunga; bino byonna nzija kubiwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Olunaani n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange Kabaka, ekibanja ekirimu egguliro kyetwalire, okole ekyo ky'onoosiima; laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n'eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbikuwadde buwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Orunaani n'amuddamu nti: “Mukama wange Kabaka, ekibanja kitwale okole nga bw'onoosiima. N'ente ziizo, nzikuwadde zibe ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiwuula bibe enku, n'eŋŋaano ebe ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Byonna mbikuwa buwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Olunaani n’agamba Dawudi nti Lyetwalire, mukama wange kabaka akole ekyo ky'anaasiima: laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbiwa buwa.