1 Chronicles 21:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Dawudi n'addamu Orunani nti: “Nedda, nzija kusasula omuwendo gwonna kubanga sijja kuweereza Mukama kikyo, oba okumwokera ekitambiro ekyokye nga sirina kye mpaddeyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti, “Nedda; naye mazima nnaabigula omuwendo gwennyini ogubigyamu; kubanga sitoole ku bibyo okuwa Mukama, so siweeyo ekiweebwayo ekyokebwa kyesisasulidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Dawudi n'agamba Orunaani nti “Nedda, nja kubigula omuwendo gwennyini ogubigyamu, kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa kye sitooledde kantu na kamu”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti Nedda; naye mazima naaligula n'ebintu obutaseera: kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, so siiweeyo ekiweebwayo ekyokebwa ekitanzitidde byange.