1 Chronicles 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'azimbirayo Omukama omwaliiro, n'aweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu. N'akoowoola erinnya ly'Omukama; Omukama n'amwanukula n'omuliro ogwava mu ggulu ku mwaliiro gw'ekitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'azimbira Mukama ekyoto eyo, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; Mukama n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'azimbirayo Mukama alutaari, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amuddamu ng'asindika omuliro ku alutaari nga guva mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'azimba eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa.