1 Chronicles 21:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kadde ako Dawudi bwe yalaba ng'Omukama amuwulidde, mu gguuliro lya Orunani Omuyebusi n'atambirirayo ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu ky'amusabye ng'ali mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerangayo ssaddaaka mu kifo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu ky'amusabye ng'ali mu gguuliro lya Orunaani, n'aweerangayo ebitambiro mu kifo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerayo eyo ssaddaaka.