1 Chronicles 21:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba kabaka nti: “Omukama Katonda wo ku muwendo gw'abantu nga bwe guli kati agwongereko emirundi kikumi. Naye mukama wange kabaka, bano bonna si baweereza ba mukama wange? Mu kintu kino kiki ky'ogenderedde? Lwaki wandyagadde okuleetera Yisirayeli omusango?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “ Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'ayogera nti, “Mukama ayaze abantu be, beeyongere obungi emirundi kikumi (100); mukama wange kabaka, bonna si bantu bo? Naye mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? Kiki ekimwagaza okukola ekyo ekinaaletera Isiraeri yonna omusango?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'agamba nti: “Mukama ayaze abantu be, beeyongere obungi emirundi kikumi. Mukama wange Kabaka, bonna bantu bo, ayi Ssaabasajja. Naye lwaki oyagala okukola ekyo, ekinaaleetera Yisirayeli yonna omusango?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'ayogera nti Mukama ayongere abantu be okusinga omuwendo gwabwe oguliwo kaakano emirundi kikumi: naye, mukama wange kabaka, bonna si baddu ba mukama wange? mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? kiki ekimwagaza okuba ensonga y'omusango eri Isiraeri?