1 Chronicles 21:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi teyaguma kugenda kwebuuza eyo ku Katonda, kubanga yali atidde ekitala kya malayika w'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka nga Dawudi tayinza kugenda mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyokka Dawudi nga tayinza kugendayo okusinza Katonda, kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Dawudi n'atayinza kujja mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.