1 Chronicles 21:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka kye yagamba kye kyasinza ekya Yowabu amaanyi; bw'atyo Yowabu n'agenda n'ayitaayita mu Yisirayeli yenna, n'akomawo mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ekya Yowaabu. Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna n'alyoka akomawo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yowaabu n'awalirizibwa okukola ekyo kabaka kye yalagira. N'agenda n'atalaaga Yisirayeli yonna, n'alyoka akomawo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu: Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna, n'ajja e Yerusaalemi.